Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, olunnaku lwaleero nga 4 agobye abadde omuddumizi wa poliisi afande Kale Kayihura saako ne minisita ow’ebyokwerinda General Henry Tumukunde.
Omukulembeze w’eggwanga nga asinziira ku buyinza obwamuwebwa ssemateeka wa Uganda
ennyingo 113(1) ne 213(2) yasazeewo okulonda Okoth Ochola nga omuddumizi omugya ne General Elly Tumwiine nga minisita w’ebyokwerinda ng’ono asikidde General Tumukunde, ate ye Sabiiti Muzeei yalondeddwa ng’omu myuka wa Okoth.
Kigambibwa nti enkyukakyuka eno yandiba nga evudde ku ntalo ezomunda ezize nga zibaawo wakati wa Kayihura ne Tumukunde.

Omuduumizi wa poliisi omugya (Okoth) yabadde omuyuka Kayihura okuva mu 2005.
Okoth amanyikiddwa nnyo mu kulwanyisa enguzi mu kitongole kya poliisi.

Kayihura yafuuka omuduumizi wa poliisi oluvannyuma lwokuddira General Katumba Wamala mu bigere okuva 2005.
Kayihura afumuddwa nga wakayita ebbanga lya mwaka gumu gwoka bukyanga ekisanja kye nga omuddumizi wa poliisi kiddizibwa bugya.
Omukugu mu by’okwerinda era nga munoonyereza Fred Egesa avuddeyo nakuutira omuduumizi omugya okuwa abakulu ba poliisi ebitiibwa ebibaggwanira nga kino kyakumuyambako okwewala obuvuyo mu kitongole kyalondeddwa okulembera.
Wabula ate ye loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago attegezezza nti enkyukakyuka eno yakuwuddisa banna Uganda era nategeze nga Okoth ekitongoole kyasikidde bwe bwekyavunda edda.!
